EKIKA KYE KKOBE MU BUGANDA

OMUZIRO KKOBE
AKABBIRO KKAAMA
OBUTAKA BUZIMWA-MAGALA, MAWOKOTA
EMBUGA BUWAMA, MAWOKOTA
OMUTAKA OWAAKASOLYA OMUTAKA NNAMWAMA
OMUBALA KASONZI, MULWADDE ASINDA. OMUKAZI LEKA EYO EMBWA GIREETE. BAMPADDE GGUMBA LUMA OKWO.

Nnyanjula

Ekika ky'Ekkobe kimu ku bika bya Buganda attaano mu mukaaga ng'ogasseko bina ebyalangirirwa mu 2005 - eky'Emmamba, Kakoboza, Mutima omusaggi, Ngabi ennyunga n'Enkusu ebiri mu Buganda. Nga tetuneyongerayo, osaana okujjukiranga nti Omutaka Owaakasolya ye mukulembeze ow'oku ntikko ayunga ekika kyo ku Ssaabasajja Kabaka (ku Bwakabaka bwa Buganda). Okuva ku mutaka waakasolya okutuuka ku muntu kinnoomu tulina okuba n'Essiga, Omutuba, Olunyiriri, Oluggya, Enju (gwe omuntu omu mwova).

Ekkobe mmere ebala ku kimera ekyerandiza kyokka ku kitooke oba ku muti era edda yayambanga nnyo mu njala anti eyinza n'okumala emyezi omukaaga oluvannyuma lw'okukukungulwa nga teyononese. Ekkobe lirimu ebika bibiri; waliwo eddene eriyitibwa Nakatudde n'akatono akayitibwa Nakakaawa. Abagalya bagamba nti Nakakaawa likaawa ng'erinnya lyalyo. Naye nga mu kweddira tewali njawulo nti nze neddira Nakatudde oba Nakakaawa.

Ebitongole by’Obuwangwa

Lambula ku bitongole by’Obuwangwa eby’enjawulo n’eby’okukola eby’enjawulo eby’okulwanyisa n’okukuuma obuwangwa bwaffe.

Manya Ebisingawo
Ebyafaayo

Lambula ku byafaayo byaffe.

Lambula ku Byaafaayo
Obukulembeze n’Okukulemberamu

Manya obukulembeze bwaffe bwebuzze bukula

Laba Obukulembeze

Okwebaza

Twebaza abantu bangi nnyo nnyo abatusobozesezza okukola omulimu guno. Mubangi tunokoddeyo Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Kyana James Magala Muteweta n'omuzzukulu Dr. Victor Nsereko Wantaate bebazibwa kyansusso.

Amawulire G’amangu

Ebikulu mu kiwandiiko
Bannamwama 40 Mu byafaayo by’ekika
Obuzibu bwatandika mu 1893
Emisango mingi egy’amateeka okuva olwo 1940s
Ebikwata Kumuwandisi
Isaac Ssettuba

Secretary, Kkobe Clan

Ilsett7@yahoo.com
(+256) 772 478371